Joel 2:1-11

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

1 aBakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
2 bLuliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

3 cEnzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,
n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.
Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,
naye gye ziva buli kimu zikiridde;
ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4 dZifaanana ng’embalaasi,
era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5 eZigenda zibuuka ku nsozi
nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.

6 fAbantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,
era bonna beeraliikirivu.
7 gZirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,
ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.
Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi
awatali kuwaba n’akamu.
8Tezirinnyaganako,
buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,
ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9 hZifubutuka ne zigwira ekibuga.
Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.
Zirinnya amayumba
ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.

10 iZikankanya ensi
era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 j Mukama akulembera eggye lye
n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
era lwa ntiisa nnyo.
Ani ayinza okulugumira?
Copyright information for LugEEEE